Babi

Omutuba Gwa Babi

Omutuba gwa  Babi e Nkuuka, Busujju guvaamu Olunyiriri lumu lunno wamanga:

Lumunyemunye

Olunyiriri lwa Lumunyemunye nga lukulemberwa Omuttaka Amos Mpagi (mu kifaananyi) e Bukalabi Ggombolola Kassangombe mu Ssaza lye Bulemezi.

Olunyiriri luvaamu empya 6

  1. Oluggya lwa Ssepuuya Abdallah e Bugambakimu
  2. Oluggya lwa Nkuune Yusuf e Kasambya Kassaga, Bulemezi
  3. Oluggya lwa Taguzeemu Benenego Mpagi e Kibaale ,Bulemeezi.
  4. Oluggya lwa Sewanyana Batemyetto Nkuzongere e Semuto, Bulemeezi.
  5. Oluggya lwa Mpagi Israel e Kibaale, Bulemeezi
  6. Oluggya lwa Luyombya Sulaiman e Kasiga, Bulemeezi