Katimpa

Omutuba Gwa Katimpa

Omutuba gwa Katimpa e Lukaaka, Ssingo  gukulemberwa Omuttaka Mponye Charles era guvaamu enyiriri biri zino wamanga:

Masso Mpaddumi

Olunyiriri lwa Masso Mpaddumi nga luno lukulemberwa Omutaka Ssalongo Kalanzi Christopher (mu kifaananyi) ku mutala Bakijulula , Ggombolola ye Kyamuliibwa  mu Ssaza lye Buddu.

Olunyiriri luvaamu  empya ssatu:

  1. Oluggya lwa Masembe Constant e Bakijulula,Gombolola Kyamuliibwa, Buddu.
  2. Oluggya lwa Katumwa Budalaheri e Bujuubya, Gombolola ye Nakaseke,Bulemeezi.
  3. Oluggya lwa Kabiswa Womeraka Tera e Buso-Lulagala, Gombolola Gombe Sabawaali mu Ssaza lye Kyaddondo.

Mu mpya ezo wagulu mulimu abazzukulu bangi nga bewandiisa mpola mpola.

Mbwabwa

Olunyiriri lwa Mbwabwa lukulemberwa Omutaka Rev. Kalanzi Yosamu e Butale, Gombolola Kyanamukaaka mu Ssaza ly Buddu.