Ensawo Y’ennono

Ensawo Y’Ennono

Nga tugoberera obujjaja bwaffe n’ennono tuyigirize abaana baffe empisa, obuwangwa n’obulombolombo okuviira ddala mu Nyumba, Oluggya, Olunyiriri n’Omutuba. Kino kijja kuyamba abaana n’abazzukulu okukuuma ennono, obuwangwa n’obulombolombo; okuzaawo embuga; okulongoosa embuga, okusimba emiti, okununula ettaka n’okukola emikolo emikulu. Bino wamanga byetusuubira okutukiriza nga tukozesa ensawo eno:

  • Okuddukanya emirimu gy’ Ofiisi y’Essiga nga tuwuliziganya, tukuba empapula, tutuuza enkiiko n’okukuuma ebyafaayo.
  • Okulongoosa embuga y’Essiga e Mmaanyi Busujju.
  • Okuzimba enyumba etuukirwako ku lusozi Mmaanyi.
  • Okununula ettaka nga tufuna ebyapa n’okujjako abasenze.
  • Okunyweeza eby’ensimbi mu Ssiga n’okulaba NGA tusiga ssente mu mirimu egiyingiza ensimbi.

Ebinaakolebwa

  • Okulaba nga ab’Emituba n’enyiriri batuuza enkiiko zaabwe buli myezi ebiri.
  • Okulaba nga olukiiko lw’Essiga lwongerwamu amaanyi.
  • Okugulawo Ofiisi omunaddukanyizibwa emirimu, okuteekateeka ebiwandiiko era n’okubikuuma.
  • Okugula entebbe, emeeza ne kabada omunaterekebwa ebiwandiiko.
  • Okulaba nga embeera, entambula n’empuliziganya y’Ow’ Essiga, n’Ab’ Emituba bikolebwako.
  • Okukungaanya ebinakozesebwa okulongoosa e Maanyi n’okulaba nti abantu n’ebintu bitambuzibwa bulungi nga n’abanenyigira ku mikolo balabilirwa.
  • Okuzaawo ekibira ky’embuga
  • Okugogola enzizi n’okuziyiiza abazonoona.
  • Okulaba nti amakubo g’embuga gonna galimwa buli bbanga eggere.
  • Okukola pulaani y’enyumba abazzukulu we batuukira
  • Okugula bulooka, omusenyu, amayinja,seminti, mitayimbwa, mabaati mbaawo n’ebirala ebikozesebwa okuziimba.
  • Okufuna abazimbi abatendeke bakulembere omulimu gw’okuzimba.
  • Okulondoola ebyapa by’ettaka ly’embuga n’okubikyusa bidde mu mannya ga Kajubi Balitema owa 26.
  • Okupunta ettaka lyonna eliriko embuga n’ okulamba ensonda zaalyo.
  • Okutema empenda mwe tunayita okufuna ensimbi ezinayimirizaawo Essiga gamba nga okukuba Kalenda, okutunda obukalamu n’obusumulula amacuppa.
  • Buli nyumba okusasula omutemwa gwa Sillingi 200,000 buli mwaka.
  • Okwenyigira mu mikolo gy’ennono n’obuwangwa nga bwe kisanira.

Ebirungi Ebisubirwa

  • Buli muzzukulu amanya obuvunanyizibwa bwe era najjumbira enkiiko n’emikolo.
  • Abattaka b’ Essiga n’Emituba ejja kulongooka basobole okuwereza mu mbeera eyeyagaza.
  • Tujja kuba n’ekifo awategekebwa n’awakumiirwa ebiwandiiko n’okutuuza enkiiko entonotono.
  • Embuga yaffe e Maanyi Busujju ejjakuba njoyoote bulungi nga n’ abagilambula bagisaamu ekitiibwa.
  • Amakubo g’embuga gajja kuba malime nga temuli nsiko.
  • Enzizzi engogole obulungi nga nyonjo
  • Tujja kununula ettaka okuva ku basenze n’okufuna pulaani y’okuzimba.
  • Enyumba enzimbe awatuukirwa abazzukulu n’abagenyi era webawumulira.
  • Ensawo y’ensimbi nga y’esigika era nga eddukirira abazzukulu.

Embalirira

  • Ensawo yakuba n’embalirira ekolebwa buli mwaka okuva 01 Julaayi.
  • Embalirira ejja kulaga amakubo gonna ag’okuyingiza ensimbi.
  • Embalirira ejja kulaga ensasanya mu kuddukanya ensawo n’okulaga engeri ensimbi gye zinaweebwanga emitemwa egy’enjawulo.
  • Embalirira ejja kulaga eby’obugagga ensawo by’eneteekangamu ensimbi oba n’okugula.
  • Alipoota y’embalirira ejja kukolebwanga buli bbanga ly’emyezi essatu oba nga olukiiko bwelunaba lusazeewo naye nga mu buli ngeri ebbanga terisukka myezi mukaaga.

Embalirira y’ensawo enno ejja kukolebwa mu ngeri biri.

Essooka

Okukunganya ensimbi z’omutemwa gwa buli nyumba buli mwaka Shs 200,000.Ensimbi zino zijja kulabirira emirimu egya bulijjo n’okuteekateeka engendo ezitali zimu wamu n’okuteekateeka ebiwandiiko eby’enjawulo. Embalirira enzijuvu nga eraga ensasanya n’enfulumya y’ensimbi ejja kukolebwa era enyonyolwe.

Ey’Okubiri

Okusonda ensimbi ez’okukola emirimu egy’enjawulo naddala okuzimba ofiisi. Okutandika emirimu egiyingiza ensimbi n’okuwerera abazzukulu. Bino byonna bijja kukolebwa embalirira enzijuvu eraga ebyetaagibwa n’enfulumya y’ensimbi.

Enzirukanya Y’Emirimu

Mu ntandiikwa obuvunanyizibwa bw’ensaawo eno bujja kubera mu mikono gy’Ow’Essiga n’Ab’ Emituba okulaba nti tufuna omusingi omulungi.

Ebyafaayo

Okumala ebbanga abazzukulu tebalina nsawo eterekebwamu ensimbi okusobola okwekulakulanya n’okuyiiya emirimu egivaamu ensimbi. Mu ngeri eno kino kikumiidde abazzukulu mu bwaavu ate n’okugayaala ne bagayaala okwenyigira mu mirimu n’emikolo gy’Essiga. Ensawo eno yakutandika nga 04 July 2016.

Ebigendererwa

Olw’ebyafaayo ebyo wagulu tukizudde kikulu nnyo okutandikawo ensawo y’okwekulakulanya era nga ebigendererwa bye bino wamanga:

  • Okwagazisa abazzukulu okutereka ensimbi mu ngeri enyangu naye nga yampolampola.
  • Okuwola abazzukulu ensimbi okuyimirizawo emirimu egiriwo n’okutandika emirimiu egiyingiza ensimbi okubajja mu bwaavu.
  • Okutetenkanya engeri y’okusiga ensimbi mu bintu ebivaamu ensmbi ezinayimirizawo Essiga.
  • Okumakuma abazzukulu okubeera obumu.

Ebinakolebwa

  • Okufuna ensimbi ezigulawo ensawo.
  • Okukola enteekateeka y’enkola enagobererwa okwewandiisa n’okutereka ensimbi.
  • Okukola enteekateeka y’okuwola abazzukkulu abalina ebisanyizo.
  • Okutegeka ebiwandiiko ebinakozesebwa mu kutereka n’okuwola ensimbi.
  • Okutuuzanga enkiiko ezinayiisa empapula zabo abagala okwewola.
  • Okulaba nti abazzukulu bakomyawo ensimbi ezewoleddwa.
  • Okukubiriza abazzukulu okutereka nga tuyita mu misomo egy’awamu ne buyino.
  • Okuwa abazzukulu amagezi mu ngeri gyebayinza okutumbula emirimu gyabwe
  • Okunoonya ebintu by’okusigamu ensimbi tunyweze ensawo y’okwekulakulanya.
  • Okugula eby’obugagga gamba nga ettaka okugaziya enfuna y’Essiga.

Enkola Y’Emirimu

  • Olukiiko lujja kukulemberwa Ow’Essiga n’Ab’Emituba nga luddukanya ensawo eno.
  • Ow’Essiga n’Ab’Emituba bajja kulondayo abantu abalala babiri okubayambako ku lukiiko luno.
  • Olukiiko lujja kuwandiisa yo omukozi oba abakozi okubamyambako nga obwetaavu bwe bunaba.
  • Emirimu gy’ensawo gigya kukalabizibwa mu kifo ekinaba kikakasiddwa olukiiko.
  • Olukiiko lujja kuteekawo enkola y’okukuma ebitabo ne biwandiiko by’ensawo eno.
  • Olukiiko lujja kulondoola abazzukulu bonna abewooze ensimbi n’okulaba nti ensimbi zikosezebwa bulungi.
  • Alipoota ejja kukolebwa buli myezi essatu okulaga emirimu bwegitambula.

Ebyetaagisa Okwegatta Ku Nsawo Eno

OMUZZUKULU OKWEGATTA N’ OKUWAAYO ERI ENSAWO Y’ENNONO
  • Okujjuza FOOMU_KSF1 y’ensawo nagiwaayo.
  • Okutoola omutemwa ogwa UGX 200,000 buli mwaka.
  • Okwanjula abasigire.
  • Okwanjula enyumba eri ow’olunyiriri
OMUZZUKULU OKWEGATTA N’OKUWAAYO ERI ENSAWO Y’OKWEKULAKULANYA
  • Okujjuza olupapula (FOOMU_KSF1) y’ensawo y’okwekulakulanya nagiwaayo.
  • Okutoola omutemwa ogwa UGX 80,000 buli mwaka.
  • Okutereka ensimbi ezitaka wansi wa UGX 30,000 buli mwezi.
  • Okufuna abayima abanakweyimirira nga oyagala okwewoola.
  • Okujjumbira enkiiko n’emisomo eginategekebwanga okuyigiriza abazzukulu entereka n’enkozesa y’ensimbi.
BANK NAME DFCU BANK
BANK ADDRESS P.O. BOX 70 KAMPALA
BRANCH NAME Kyaddondo Road
ACCOUNT NAME ESSIGA LYA KAJUBI
ACCOUNT NO. 01361114234155
SORT CODE 050147

Kisaana buli muzzukulu ava mu Kajubi e Bujubi ategeere bulungi nti ensawo eno etandikiddwa okutugassa fenna okusobola okuva mu bwavu nga tuyiga okutereka awamu. Ensawo eno yakuyamba buli muzzukulu awatali kusosola kasita atuukiriza ebyetaagisa ate nalaga obunyikivu mu mirimu n’ebyo ebikolebwa ensawo eno.

Abazzukulu ba ddembe okwebuuza ku bakulu mu mpya, mu nyiriri ne mu mituba. Abazzukulu basobola okusaba emisomo egy’enjawulo okwongera okukuguka mu kuddukanya emirimu egiyingiza ensimbi n’okunyweeza ebyenfuna.