Okumanyagana

Omukolo Gw’okumanyagana 2017

Essiga lya Kajubi e Bujjubi lisibuka mu Kajubi Balitema omwana wa Mugalula Buyonga omukulu era nga embuga enkulu eri Maanyi mu Ssaza Busujju.

Essiga lino lirimu emituba ena gino wamanga era nga be baana ba Kajubi Balitema

  • Katimpa mu Lukaaka Ssingo
  • Segoma e Kayenje, Butambala
  • Babi e Nkuuka , Busujju
  • Ssambya e Kivvuvu, Busujju

Okumala emyaka kkumi egiyise Ow’Essiga n’ab’Emituba bateekateeka Omukolo gw’okumanyagana buli mwaka okusobozesa Abazzukulu:

  • Okungaana nebasisinkana baganda baabwe n’Ab’Emituba, Enyiriri n’Empya.
  • Okumanya ebifa mu Ssiga lyabwe
  • Okwaniriza abagenyi abayite n’okuwuliriza obubaka bwabwe.
  • Okusonda ensimbi ezikola ku mirimu emikulu mu Ssiga
  • Okulya ekijjulo ekyawamu.

Omwaka 2017 Okumanyagana kwategekebwa nga 10 Sebutemba 2017 e Rubaga Wakaliga awali ekitebbe ky’Essiga lya Kajubi e Kampala.

Abagenyi abayitibwa nebajja kwaliko bano wamanga

  • Ow’Ekitiibwa Ssabalangira wa Buganda- Musanje Godfrey
  • Omulangira Juuko Walugembe Kassabanda
  • Ow’Ekitiibwa Omuymuka wa Minisita w’Ennono- Owek. Wamala Gaganga Yusuf
  • Omukyala wa Ssekabaka Muteesa I- Owek.Nansikombi Mukumba
  • Omuttaka Mukalo e Kambugu-Omukulu w’Ekika Ky’Enjovu
  • Omuttaka Mugalula e Kisozi-Omukulu w’Ekika ky’Enseneene.
  • Namasole wa Ssekabaka Ndawula e Musaba
  • Lubuga wa Namasole wa Ssekabaka Kamanya e Kasengejje-Owek.luyombya Nsikoteyomba Joyce
  • Kattikiro mu Lubiri lwa Ssekabaka Semakokiro e Kisimbiri-Omuttaka Kalanzi Kamu(ava mu Ssiga lya Kalanzi Kalamazu e Lugo)
  • Ssenga Nambasa Efulansi(ava mu Ssiga lya Kalanzi Kalamazu e Lugo)
  • Omumbejja Birungi Elizabeth okuva mu Bwakabaka bwe Bugwe.

Abalala abaali ku mukolo guno mwe muli

Omuttaka Salongo Kalanzi Christopher(Ow’Olunyiriri Mass Mpaddumi), Omuttaka Sendawula Bulagulwa Jimmy(Olunyiriri lwa Bulagulwa) Omutaka Nyago Godfrey(Ow’olunyiriri lwa Nkoko) Omuttaka Sewanyana (ow’Olunyirirri lwa Luyagwe)

Omukolo gwatandika essawa ttaano ez’okumakya nga buli muzzukulu oba omugenyi yewandiisa ku meeza ettukirwako era natuuzibwa. Abantu bonna bawera 300 n’okusoba.

Omumbejja Nakimera Katiti Rosette yakulembera oluyimba lw’ Ekika ky’Enseenene nga Ow’Essiga

Okusaba kwakulemberwa Omukulu Bwoogi Emmanuel.

Ssentebe w’ Olukiiko oluteesiteesi Omwa Wamala George(ava mu Nyumba ya Ssendawula Tucker) yayaniriza abagenyi era nayanjula olukiiko lwe.

Ssentebbe w’ Olukiiko lw’Essiga Omuttaka Luyombya Bumabakali(Ssegoma E Kayenje) yayaniriza abagenyi nayanjula olukiiko oluddukanya Essiga nakuutira abazzukulu okwegatta ku nsawo y’Okwekulakulanya n’okukiika mu lukiiko lw’Essiga.

Omuttaka Kajubi Mike(Ssambya e Kivvuvu) yanyonyola Abazzukulu nga ekkakalabizo(Ekizimbe kya Ofiisi) bwe kituuse ku kuyiwa omwaliiro ogusooka nga omulimu gunno gwa kuwementa obukadde 19. Yasaba abazzukulu okuwaayo n’amaanyi tusobole okuyingira ekizimbe omwaka ogujja 2018.

Omuttaka Nkata Swaibu Abdu(Babi e Nkuuka) yategeeza abazzukulu n’abagenyi abayite obukulu bw’ Ensibuko yaffe n’okukuuma obuvo bwaffe nga tuyigiriza abaana obuzaale n’obujjaja. Yayanjula Omulangira Juuko Walugembe Kassabanda eyasiima okutambula n’Ekika ky’Enseenene okunyweeza emirembe mu Buganda.

Ow’Essiga yayaniriza abagenyi n’abazzukulu nakuutira abazzukulu okubeera obumu mu buli kyebakola n’okwetanira enkulakulana nga bazaawo embuga n’okuziyoyota.

Ssabalangira yabuuza ku Bazzukulu ba Kajubi e Bujubi nabakubiriza okukolera awamu mu Kika.

Omuttaka Mukalo-Omukulu w’Ekika Ky’Enjovu naye yabuuza ku Bazzukulu ba Kajubi.

Omuttaka Mugalula naye yayogera eri Abazzukulu nasanyukira enkola ey’Okumanyagana era neyebaza Ow’Essiga Kajubi era Kattikiro w’Ekika ky’Enseenene ow’ensikirano olw’okuteekateeka Omukolo n’Okuyita Abagenyi abenjawulo.

Yebaza ab’Emituba olw’obuwereza obulungi n’okugatta abazzukulu.

Bano wamanga basimiibwa olw’emirimu emirungi gyebakoledde e Kika era Omuttaka Ssegoma nabasaba bongere okuwaayo eri Essiga.

  • Kalanzi Yosamu- Mbwabwa
  • Ssalongo Kalanzi Christopher-Masso Mpaddumi
  • Buunya Michael Ssewanyana
  • Enyumba ya Sendawula Tucker
  • Masembe Kagoyo Godfrey
  • Nabagesera Farida
  • Mutiibwa Pius
  • Nalongo Nansikombi
  • Nakalanzi Sylvia
  • Kajubi Wilson
  • Kalibbala Apollo Basudde.
  • Amos Mpagi-Lumunyemunye
  • Wamala George
  • Mpagi Israel
  • Nyago Godfrey
  • Ssempagala Musa
  • Enyumba ya Ssewanyana John
  • Kalibbala Israel
  • Sseppuya Spire
  • Masembe Nicholas

Waaliwo akatale ka ebintu eby’enjawulo omwaali ensujju, obugaati, bogoya etooke n’ebirala era nga kavaamu silingi 910,000. Ebintu ebikalu ebyeyamwa mwalimu Seminti.

Owekitiibwa Wamala Gaganga Yusuf yayogera eri Abagenyi n’Abazzukulu nabakuutira okwagala Ebika byaabwe n’okwenyigira mu mikolo n’enkiiko ez’ennono n’obuwangwa okumanya obuvo n’obuddo. Ow’Essiga Kajubi n’ab’Emituba batonera Owekitiibwa ekirabo n’okumwebaza okubeera ku mukolo.

Oluvanyuma waliwo ekifananyi ekyawamu er Ow’Essiga Kajubi nagabula Abagenyi n’Abazzukulu eky’Emisana.

Omukolo gwagwa bulungi.